2 Kings 2:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannakibiina ky'abalanzi abali mu Yeriko ne basemberera Elisa ne bamugamba nti: “Omanyi ng'olwa leero Omukama ajja kusitula mukama wo amukuggyeko?” N'ayanukula nti: “Yee, mmanyi, naye mukisirikire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko ne bajja eri Erisa ne bamubuuza nti Omanyi nga olwaleero Mukama ajja kukujjako mukama wo amutwale? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'ekibiina ky'abalanzi abaali e Yeriko ne batuukirira Elisa, ne bamubuuza nti: “Omanyi nga Mukama olwaleero ajja kukuggyako mukama wo, amutwale?” Elisa n'addamu nti: “Weewaawo mmanyi. Mmwe musirike.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko ne bafuluma eri Erisa, ne basemberera Erisa ne bamugamba nti Omanyi nga Mukama anaggya mukama wo ku mutwe gwo leero? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike.