2 Kings 2:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'agamba nti: “Sigala wano, kubanga Omukama ansindise ku Yorudani.” Elisa n'amugamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, naawe ggwe ng'oli mulamu, sijja kukuvaako.” Awo ne bagendera wamu bombi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’addamu nate n’amugamba nti, “Sigala wano, nserengete ku Yoludaani Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.” Awo ne batambula bombi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'amugamba nti Nkwegayiridde, beera wano; kubanga Mukama antumye e Yoludaani. N'amuddamu nti Nga Mukama bw'ali omulamu, naawe nga bwoli omulamu, sijja kukuleka. Awo bombi ne bagenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'agamba Elisa nti: “Nkusaba osigale wano, kubanga nze, Mukama antumye ku Mugga Yorudaani.” Elisa n'addamu nti: “Mu mazima, nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, sijja kukuvaako!” Awo ne bagenda bombi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'amugamba nti Nkwegayiridde, beera wano; kubanga Mukama antumye e Yoludaani. N'ayogera nti nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo abo bombi ne batambula.