2 Kings 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannakibiina ky'abalanzi amakumi ataano be bagenda ne bayimirira nga beesuddeko akabanga nga batunuulidde. Eliya n'Elisa baali bayimiridde ku Yorudani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne waba ekibiina kya bannabbi amakumi ataano abaali bayimiridde akabanga okuva Eriya ne Erisa we baali ku lubalama lw’omugga Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abasajja ataano (50) ab'oku baana ba bannabbi ne bagenda nabo; naye ne basigala walako nga babatunuulidde: Erisa ne Eriya bo ne bayimirira ku mugga Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bayimirira ku Yorudaani. Abasajja amakumi ataano ab'ekibiina ky'abalanzi nabo ne bagenda, ne bayimirira walako, ne babatunuulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abasajja amakumi ataano ab'oku baana ba bannabbi ne bagenda ne bayimirira okuboolekera wala nabo; abo bombi ne bayimirira ku Yoludaani.