2 Kings 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'akwata omunagiro gwe n'aguzingazinga n'akuba amazzi, ne geetemamu wabiri; bombi ne basomoka nga bayita wakalu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'addira omunagiro gwe n'aguzinga wamu n'akuba ku mazzi g'omugga Yoludaani ne geeyawulamu wabiri; bombi ne bayita wakati awakalu ne batuuka emitala w'omugga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Eliya n'akwata omunagiro gwe, n'aguzinga wamu, n'agukozesa okukuba ku mazzi, amazzi ne geeyawulamu wabiri erudda n'erudda, bombi ne bayita awakalu okugenda emitala w'eri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'addira omunagiro gwe n'aguzinga wamu n'akuba amazzi ne gaawulibwamu eruuyi n'eruuyi n'okuyita ne bayita bombi ku lukalu.