2 Kings 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baasomoka, Eliya n'agamba Elisa nti: “Nsaba ky'oyagala nkukolere nga sinnakuggyibwako.” Elisa n'agamba nti: “Nkwegayiridde, mpa nsikire emigabo ebiri ku mwoyo wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baamala okusomoka, Eriya n’abuuza Erisa nti, “Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka bwe baamala okusomoka Eriya n'agamba Erisa nti Saba kyemba nkukolera nga sinnakuggibwako. Erisa n'ayogera nti Nkwegayiridde emigabo ebiri egy'omwoyo gwo gibeere ku nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuuka emitala w'eri, Eliya n'agamba Elisa nti: “Saba kye mba nkukolera nga sinnakuggyibwako.” Elisa n'addamu nti: “Nkwegayiridde kkiriza nfune emigabo ebiri egy'obuyinza bwo, nfuuke omusika wo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe baamala okusomoka Eriya n'agamba Erisa nti Saba kye nnaakukolera nga sinnaba kukuggibwako. Erisa n'ayogera nti Nkwegayiridde emigabo ebiri egy'omwoyo gwo gibere ku nze.