2 Kings 20:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nnaku ezo Kezekiya yalwala, n'ajula okufa. Yisaaya omulanzi, mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Tereeza eby'ennyumba yo kubanga ojja kufa, tojja kulama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Keezeekiya n’alwala n’abulako katono okufa. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: Teekateeka ennyumba yo, kubanga ogenda kufa so togenda kuwona.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo mu biseera ebyo, Heezeekiya n'alwala nnyo kumpi kufa. Omulanzi Yisaaya mutabani wa Amozi n'agendayo okumulaba, n'amugamba nti: “Teekateeka eby'omu maka go, kubanga ogenda kufa, tojja kuwona.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Keezeekiya n'alwala kumpi n'okufa. Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi n'ajja gy'ali n'amugamba nti Teekateeka ennyumba yo; kubanga ogenda kufa so togenda kulama.