2 Kings 20:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya n'agamba nti: “Kyangu ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi; ekyo si kye kiba kibaawo, wabula njagala kidde emabega amadaala kkumi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya n’addamu nti, “Kintu kyangu nnyo ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, Noolwekyo kiddeyo emabega amadaala kkumi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya n'addamu nti Ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala ekkumi ekyo kyangu, naye kidde emabega amadaala kkumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Heezeekiya n'addamu nti: “Kiba kyangu ekisiikirize okukka amadaala ekkumi mu maaso gye kibadde kigenda. Ekyo nedda, naye ekisiikirize leka kidde emabega amadaala kkumi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya n'addamu nti Ekisiikirize okukka amadaala kkumi kigambo kyangu: nedda, naye ekisiikirize kiddeyo ennyuma amadaala kkumi,