2 Kings 20:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya n'akoowoola Omukama; Omukama n'azza emabega ekisiikirize amadaala kkumi ge kyali kiserengese ku madaala ga Akazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaya n’akoowoola erinnya lya Mukama, era Mukama n’azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi okuva ne we kyali ku madaala ga Akazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnabbi Isaaya n'eyegayirira Mukama n'azzaayo ekisiikirize emabega amadaala kkumi, ge kyali kikkiddeko ku madaala ga Akazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaya omulanzi ne yeegayirira Mukama, Mukama n'azzaayo ekisiikirize emabega ebbanga ery'amadaala ekkumi ge kyali kigenze mu maaso ku madaala Kabaka Ahazi ge yakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaya nnabbi n'akaabirira Mukama: n'azzaayo ennyuma ekisiikirize ebbanga ery'amadaala ekkumi, ge kyali kikkiddeko ku madaala ga Akazi.