2 Kings 20:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Merodaki-Balaadani mutabani wa Balaadani kabaka w'e Babiloni yaweereza ebbaluwa n'ekirabo ewa Kezekiya, kubanga yali awulidde nti Kezekiya mulwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti Keezeekiya yali alwadde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Berodakubaladani kabaka w'e Babbulooni mutabani wa Baladani n'awandiikira Keezeekiya ebbaluwa, n'amuweereza n'ekirabo: kubanga yawulira Keezeekiya bwe yali alwadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnaku ezo, kabaka wa Babilooniya Merodaki Baladani, mutabani wa Baladani, n'awulira nga Heezeekiya bwe yali alwadde. N'amuwandiikirayo ebbaluwa n'agimuweereza wamu n'ekirabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Berodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w'e Babulooni n'aweereza Keezeekiya ebbaluwa n'ekirabo: kubanga yawulira Keezeekiya bwe yali alwadde.