2 Kings 20:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya yayaniriza ababaka, n'abalaga byonna ebyali mu nnyumba ye ey'enkuluze: ffeeza, zaabu, ebirungo, emizigo egy'akaloosa, ennyumba y'ebyokulwanyisa, ne byonna ebyasangibwa mu nkuluze ye. Tewali na kimu mu lubiri lwe oba wonna mu bwakabaka bwe Kezekiya ky'ataabalaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya n’ayaniriza ababaka abaleeta ebbaluwa, n’abalambuza amawanika ge gonna omwali eby’omuwendo ebingi ng’effeeza, ne zaabu, n’ebyakaloosa n’amafuta ag’omuwendo omungi. Yabalambuza ennyumba omwali ebyokulwanyisa, n’eby’omuwendo ebirala ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu mu lubiri wadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya n'ayaniriza abaabireta, n'abalaga ennyumba yonna ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza n'ezaabu n'eby'akaloosa n'amafuta ag'omuwendo omungi n'ennyumba ey'eby'okulwanyisa bye ne byonna ebyalabika mu by'obugagga bwe: tewali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Heezeekiya n'ayaniriza abaabireeta, n'abalaga ebyobugagga bwe byonna mu nnyumba ye ey'eggwanika: ffeeza ne zaabu, n'ebyakaloosa, n'omuzigo ogw'omuwendo ennyo, n'ennyumba mw'atereka ebyokulwanyisa bye, na byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu lubiri lwe, wadde mu bwakabaka bwe bwonna ky'ataabalaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya n'abawulira n'abalaga ennyumba yonna ey'ebintu bye eby'omuwendo omungi, effeeza n'ezaabu n'eby'akaloosa n’amafuta ag'omuwendo omungi n'ennyumba ey'ebyokulwanyisa bye ne byonna ebyalabika mu by'obugagga bwe: tewali kintu mu nnyumba ye newakubadde mu matwale ge gonna Keezeekiya ky'ataabalaga.