2 Kings 20:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya omulanzi n'ajja ewa kabaka Kezekiya n'amubuuza nti: “Abasajja abo bagambye ki, ye bavudde wa okujja gy'oli?” Kezekiya n'amuddamu nti: “Bavudde mu nsi ya wala, bavudde Babiloni.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja abo bagambye ki era bavudde wa?” Keezeekiya n’addamu nti, “Bavudde mu nsi ey’ewala mu Babulooni.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amubuuza nti Abasajja bano boogedde ki naawe? Era bavudde wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'addamu nti Bava mu nsi ey'ewala e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaya omulanzi n'ajja eri Kabaka Heezeekiya, n'amubuuza nti: “Abasajja bano bagambye ki, era bavudde wa okujja gy'oli?” Heezeekiya n'addamu nti: “Bava mu nsi ey'ewala, ey'e Babilooniya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isaaya nnabbi n'ajja eri kabaka Keezeekiya n'amugamba nti Abasajja bano boogedde ki? era bavudde wa okujja gy'oli? Keezeekiya n'ayogera nti Bava mu nsi ey'ewala mu Babulooni.