2 Kings 20:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya n'amubuuza nti: “Balabye ki mu lubiri lwo?” Kezekiya n'amuddamu nti: “Byonna ebiri mu lubiri lwange babirabye; mu nkuluze yange mpaamu kye sibalaze.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnabbi n’amubuuza nti, “Balabye ki mu lubiri lwo?” N’addamu nti, “Balabye buli kintu mu lubiri lwange, tewali na kimu ku by’omu mawanika gange kye nabakwese.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amubuuza nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'abuuza nti: “Balabye ki mu lubiri lwo?” Heezeekiya n'addamu nti: “Byonna ebiri mu lubiri lwange babirabye. Tewali kintu na kimu ku byobugagga bwange kye sibalaze.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Balabye ki mu nnyumba yo? Keezeekiya n'addamu nti Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye: tewali kintu mu by'obugagga bwange kye ssibalaze.