2 Kings 20:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Kale nno ennaku zijja kutuuka, byonna ebiri mu lubiri lwo n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka n'okutuusa ku lunaku lwa leero bitwalibwe e Babiloni; tewalisigalawo kantu,’ Omukama y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ekiseera kijja byonna ebiri mu lubiri lwo, ne byonna bajjajjaabo bye baatereka, lwe biritwalibwa e Babulooni. Tewaliba kintu ekirisigalawo,” bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babbulooni: tewali kintu ekirisigala, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Manya ng'ekiseera kijja kutuuka, byonna ebiri mu lubiri lwo, n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa kati, bitwalibwe e Babilooniya. Tewaliba na kimu kirisigala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ennaku zijja byonna ebiri mu nnyumba yo n'ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa leero lwe biritwalibwa e Babulooni: tewali kintu ekirisigala, bw'ayogera Mukama.