2 Kings 20:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya n'agamba Yisaaya nti: “Ekigambo ky'Omukama ky'oyogedde kirungi.” Anti muli yali agamba nti: “Mu budde bwange teririba ddembe na butebenkevu?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya n’addamu nti, “Ekigambo kya Mukama ekyo ky’oyogedde kirungi.” Yalowooza mu mutima gwe nti, “Kasita, emirembe n’obutebenkevu binaabeerangawo mu mirembe gyange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi: kasita mu kiseera kyange wanaabaawo emirembe n'amazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Heezeekiya n'agamba Yisaaya nti: “Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde, kirungi.” Kubanga yagamba nti: “Ate si kirungi, oba nga walibaawo emirembe n'obutebenkevu mu kiseera kyange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Ekigambo kya Mukama ky'oyogedde kirungi. Era n'ayogera nti Si weewaawo, emirembe n'amazima bwe binaabangawo ku mirenbe gyange?