2 Kings 20:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nkwegayiridde, ayi Mukama, jjukira nga bwe natambulira mu maaso go mu butuufu n'omutima ogukwemalizza, nga nkola ekyo kyokka ekikusanyusa.” Kezekiya n'akaaba nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Jjukira, Ayi Mukama Katonda, nga bwe ntambulidde mu maaso go mu bwesigwa n’omutima ogutuukiridde, era ne nkola ebirungi mu maaso go.” Keezeekiya n’akaaba nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Jjukira kaakano, ayi Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ayi Mukama, nkwegayiridde, jjukira bwe mbadde omwesigwa mu maaso go, nga nkugondera n'omutima gwange gwonna, era nga mbadde nfuba bulijjo okutuukiriza by'osiima!” Heezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Jjukira kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, bwe nnatambuliranga mu maaso go n'amazima n'omutima ogwatuukirira, ne nkola ebiri mu maaso go ebirungi. Keezeekiya n'akaaba nnyo amaziga.