2 Kings 20:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ddayo ogambe Kezekiya omukulembeze w'abantu bange nti: ‘Kino ky'agamba Omukama Katonda wa jjajjaawo Dawudi: Mpulidde essaala yo, ndabye n'amaziga go; kale nno nzija kukuwonya. Ku lunaku olwokusatu ojja kwambuka mu Kiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa jjajjaawo Dawudi nti: Mpulidde okusaba kwo, era n’amaziga go ngalabye. Nzija kukuwonya. Oluvannyuma lw’ennaku ssatu onooyambuka n’olaga mu yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, era ndabye amaziga go: nja kukuwonya. Ku lunaku olwokusatu kw'olinnyira mu nnyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ddayo ogambe Heezeekiya omukulembeze w'abantu bange nti: ‘Mukama, Katonda wa Dawudi jjajjaawo agamba nti: Mpulidde ky'osabye, era ndabye amaziga go. Kale nja kukuwonya. Ku lunaku olwokusatu ojja kuyingira mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ddayo ogambe Keezeekiya omulangira w'abantu bange nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi jjajjaawo nti Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba, ndikuwonya: ku lunaku olw'okusatu kw'olirinnyira mu nnyumba ya Mukama.