2 Kings 20:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku bulamu bwo nzija kwongerako emyaka kkumi n'etaano. Ggwe n'ekibuga kino nzija kubawonya mu mikono gya kabaka wa Assuri. Nzija kutaasa ekibuga kino ku lwange ne ku lwa Dawudi omuweereza wange.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano (15); era ndikulokola ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuli; era ndirwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndyongera emyaka kkumi n'etaano ku bulamu bwo era ndikuwonya, ne nkuggya ggwe n'ekibuga kino Yerusaalemu mu mikono gya kabaka wa Assiriya. Ndirwanirira ekibuga kino olw'ekitiibwa kyange n'olw'ebyo bye nasuubiza omuweereza wange Dawudi.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndyongera ku nnaku zo emyaka kkumi n'etaano; era ndirokola ggwe n'ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Bwasuuli; era ndirwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku bw'omuddu wange Dawudi.