2 Kings 20:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya n'agamba nti: “Muleete ekitole ky'entontogolo z'omukunyu empotose.” Bwe baakireeta, ne bakissa ku bbwa lye, n'awona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isaaya n’alagira baleete ekitole ky’ettiini, ne bakisiiga ku jjute, Keezeekiya n’awona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Isaaya n'agamba nti Muleete ekitole ky'ettiini; ne bakireeta ne bakiteeka ku jjute, n'awona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yisaaya n'agamba nti: “Muleete ebibala by'omutiini ebisekule.” Ne babireeta, ne babiteeka ku jjute lya Heezeekiya, Heezeekiya n'assuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Isaaya n'ayogera nti Muddire ekitole ky'ettiini. Ne bakiddira ne bakiteeka ku jjute, n'awona.