2 Kings 20:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kezekiya yali abuuzizza Yisaaya nti: “Kabonero ki kwe nnaalabira ne nkakasa nti Omukama anamponya, nti ne ku lunaku olwokusatu ndyambuka mu Kiggwa ky'Omukama?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti, “Kabonero ki akalindaga nti Mukama amponyezza, era nti ndyambuka mu yeekaalu ya Mukama nga wayiseewo ennaku ssatu?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Keezeekiya n'abuuza Isaaya nti Kabonero ki akakasa nga Mukama anaamponya era nga ku lunaku olwokusatu nja kusobola okugenda nnyingire mu nnyumba ya Mukama?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Heezeekiya n'abuuza Yisaaya nti: “Kabonero ki akakakasa nga Mukama anamponya, era nga ku lunaku olwokusatu, nja kusobola okugenda nnyingire mu Ssinzizo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Keezeekiya n'agamba Isaaya nti Kaluwa akabonero nga Mukama alimponya era nga ndirinnyira mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw'okusatu?