2 Kings 20:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisaaya yamugamba nti: “Kano ke kanaaba akabonero kw'onookakasiza nti Omukama anaatuusa ky'asuubizza. Oyagala ekisiikirize kigende mu maaso amadaala kkumi nandiki kidde emabega amadaala kkumi?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isaaya n’addamu nti, “Kano ke kaliba akabonero gy’oli okuva eri Mukama nti ajja kutuukiriza kye yasuubiza: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaaddayo emabega amadaala kkumi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isaaya n'amuddamu nti Kano ke kanaaba akabonero gy'oli akava eri Mukama akakasa nga Mukama anaakola ekyo ky'ayogedde: ekisiikirize kinnatambula okugenda mu maaso amadaala kkumi, oba okudda emabega amadaala kkumi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisaaya n'addamu nti: “Mukama ajja kukuwa akabonero akakakasa ng'ajja kutuukiriza ekyo ky'agambye. Kale oyagala ekisiikirize kigende mu maaso, oba kidde emabega amadaala kkumi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isaaya n'ayogera nti Kano ke kaliba akabonero gy'oli akava eri Mukama nga Mukama alikola ekyo ky'ayogedde: ekisiikirize kinaatambula mu maaso amadaala kkumi, oba kinaddayo ennyuma amadaala kkumi?