2 Kings 21:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manasse yafuuka kabaka nga wa myaka kkumi n'ebiri; yafugira mu Yeruzaalemu emyaka amakumi ataano mu etaano. Nnyina ye yali Kefuziba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Manase yatandika okufuga ng’alina emyaka kkumi n’ebiri, era n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. Nnyina ye yali Kefuziba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Manase yali awezezza emyaka kkumi n'ebiri (12) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka ataano mu etaano (55) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye nga ye Kefuziba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Manasse yali wa myaka kkumi n'ebiri we yafuukira kabaka, n'afugira emyaka amakumi ataano mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Hefuziba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Manase yali yaakamaze emyaka kkumi n'ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Kefuziba.