2 Kings 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Manasse kabaka wa Yuda akoze ebyenyinyalwa; ayonoonye n'okukira Abaamori abaamukulembera bye baakola, aleetedde ne Yuda okugwa mu kibi n'ebifaananyi bye ebya balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nti, “Olw’emizizo gino Manase kabaka wa Yuda gy’akoze, ng’ayonoona okusinga Abamoli abaamusooka bye baakola, n’ayonoonyesa Yuda n’ebifaananyi bye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Manase kabaka wa Yuda akoze eby'emizizo bino era akoze obubi okusinga byonna Abamoli bye baakola abaamusooka, era aleetedde ne Yuda okwonoona nga basinza ebifaananyi bye yateekawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Manasse kabaka wa Buyudaaya akoze ebyenyinyalwa ebyo, era akoze ebibi ebisinga byonna Abaamori abaamusooka bye baakola, n'aleetera n'ab'omu Buyudaaya okwonoona nga basinza ebifaananyi bye yateekawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Manase kabaka wa Yuda okoze eby'emizizo bino era akoze obubi okusinga byonna Abamoli bye baakola abaamusooka, era ayonoonyesezza ne Yuda n'ebifaananyi bye: