2 Kings 21:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Ŋŋenda kuleetera Yeruzaalemu ne Yuda akabi, buli yenna alikawulirako amatu ge galimuwaawaala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ndireeta ku Yerusaalemi ne ku Yuda obubi obusingirayo ddala, era na buli muntu alikiwulira, alisasamala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera nti Laba, ndeeta ku Yerusaalemi ne Yuda obubi obwenkana awo, buli abuwuliranga n'okwanaamirira amatu ge gombi gaanayanamiriranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, ŋŋamba nti: ‘Kale nja kuleeta akabi ku Yerusaalemu ne ku Buyudaaya, buli anaakawulirangako, amatu ge gawaawaalenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wa Isiraeri kyava ayogera nti Laba, ndeeta ku Yerusaalemi ne Yuda obubi obwenkana awo, buli anaabuwuliranga n'okwamirira amatu ge gombi ne gaamirira.