2 Kings 21:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era nzija kukuba olukoba olupima ku Yeruzaalemu n'olukoba olupima lwe nakuba ku Samariya, era mmupime n'akaliiso akaapimwa ku nnyumba ya Akabu; nzija kusiimuulawo Yeruzaalemu ng'oli bw'asiimuula ekibya, n'akisiimuula n'akikyusa ne kungulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndigolola omuguwa ogwakozesebwa ku Samaliya n’ejjinja erigera eryakozesebwa ku nnyumba ya Akabu eri Yerusaalemi, era ne mmalirawo ddala Yerusaalemi ng’omuntu bw’akomba esowaani okumalirako ddala emmere, n’okugifuula n’agifuula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ndibonereza Yerusaalemi nga bwe n'abonereza Samaliya, era nga bwe n'abonereza Akabu kabaka wa Isiraeri n'ab'ezzadde lye. Ndisaanyaawo abantu mu Yerusaalemi, ng'omuntu bw'asiimuula essowaani: bw'amala okugisiimuula, n'agivuunika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndibonereza Yerusaalemu nga bwe nabonereza Samariya, era nga bwe nabonereza Ahabu kabaka wa Yisirayeli n'ab'ezzadde lye. Ndisaanyaawo abantu mu Yerusaalemu, ng'omuntu bw'asiimuula essowaani: bw'amala okugisiimuula, n'agivuunika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndireega ku Yerusaalemi omugwa ogw'e Samaliya n'ejjinja erigera ery'ennyumba ya Akabu: era ndisangula Yerusaalemi ng'omuntu bw'asangula essowaani, ng'agisangula era ng'agivunika.