2 Kings 21:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kwabulira abakyasigaddewo ab'obusika bwange, mbaweeyo mu mikono gy'abalabe baabwe. Balifuuka kya kwenyagira n'okwaya eri abalabe baabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ndyabulira ekitundu ekyafikkawo eky’obusika bwange, ne nkigabula mu mukono gw’abalabe baabwe, ne bababbako buli kantu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndyabulira ekitundu ekifisseewo eky'abantu bange ne mbawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe; ne bafuuka muyiggo era munyago eri abalabe baabwe bonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndyabulira abantu bange abaliwonawo, ne mbawaayo mu mikono gy'abalabe baabwe babayigge ng'ensolo, babakwate era babafuule omunyago gwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndisuula ekitundu ekifisseewo eky'obusika bwange ne mbagabula mu mukono gw'abalabe baabwe; kale balifuuka muyiggo era munyago eri abalabe baabwe bonna;