2 Kings 21:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ekirala Manasse yayiwa nnyo omusaayi ogutaliiko musango okutuusa Yeruzaalemu lwe kyajjula ne kibooga okuva ku nsonda emu okutuuka ku ndala, nga tobaze bibi bye yaleetera Yuda okugwamu, n'akola ekibi mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate, era Manase yayiwa omusaayi mungi gw’abo abataaliko musango, n’agujjuza Yerusaalemi, obutasaako ebibi ebirala bye yayonoonyesa Yuda, ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekitala, Manase yatta abantu bangi nnyo, n'ajjuza Yerusaalemi omusaayi gw'abatalina musango; n'ayongerako okuleetera ab'omu Yuda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“N'ekirala, Manasse yatta abantu bangi nnyo, n'ajjuza Yerusaalemu omusaayi gw'abatalina musango. Okwo n'ayongerako ekibi kye eky'okuleetera ab'omu Buyudaaya okukola ebitasiimibwa Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Manase n'ayiwa omusaayi ogutaliiko musango, mungi nnyo okutuusa lwe yajjuza Yerusaalemi eruuyi n'eruuyi; obutasaako kwonoona kwe kwe yayonoonyesa Yuda ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.