2 Kings 21:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manasse n'agalamira ne bajjajjaabe, n'aziikibwa mu nnimiro y'olubiri lwe, mu nnimiro ya Wuzza; Amoni mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Manase n’afa, n’aziikibwa mu nnimiro ey’olubiri lwe, ye nnimiro ya Uzza, ne mutabani we Amoni n’amusikira okuba kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu lusuku olw'oku nnyumba ye ye, mu lusuku lwa Uzza: Amoni mutabani we n'amusikira n'afuga mu kifo kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Manasse n'akisa omukono, ne yeegatta ku bajjajjaabe, n'aziikibwa mu nnimiro y'omu lubiri, ennimiro ya Wuzza, mutabani we Amoni n'amusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Manase ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu lusuku olw'oku nnyumba ye ye, mu lusuku lwa Uzza: Amoni mutabani we n'afuga mu kifo kye.