2 Kings 21:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amoni yafuuka kabaka nga wa myaka amakumi abiri mu ebiri; yafugira emyaka ebiri mu Yeruzaalemu. Nnyina ye yali Mesullemeti muwala wa Karuzi ow'e Yotuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amoni lwe yatandika okufuga, yali awezezza emyaka amakumi abiri mu ebiri, era n’afugira mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri. Nnyina ye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow’e Yotuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amoni yali awezzeza emyaka abiri mu ebiri (22) bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow'e Yotuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amoni yali wa myaka amakumi abiri mu ebiri we yafuukira kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Mesullemeti, muwala wa Haruuzi, ow'e Yotiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amoni yali yaakamaze emyaka amakumi abiri mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka ebiri mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Mesullemesi muwala wa Kaluzi ow'e Yotuba.