2 Kings 21:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekibi mu maaso g'Omukama, ng'okukola ebyenyinyalwa by'amawanga Omukama ge yali agobyewo mu maaso g'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu makubo amabi ag’amawanga Mukama ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Manase n'akola ebibi mu maaso ga Mukama, eby'emizizo, ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri bye bakolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akola ebitasiimibwa Mukama, ng'agoberera empisa embi ddala ez'ab'amawanga amalala Mukama be yagoba mu nsi eyo ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'eby'emizizo bwe biri eby'ab'amawanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.