2 Kings 21:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bannansi ne batta bonna abeekobera kabaka Amoni; mu kifo kye ne bassaawo Yosiya mutabani we amusikire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka, abantu mu nsi ne beekobaana, ne batta abo bonna abaali mu lukwe olw’okumutta, era ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abantu ab'omu nsi ne batta abo bonna abakola olukwe olw'okutta Amoni kabaka; abantu ab'omu nsi ne bamusikiza Yosiya mutabani we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka abantu ab'omu nsi eyo ne batta bonna abaakolera Kabaka Amoni olukwe, ne bateekako mutabani we Yosiya okumusikira ku bwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abantu ab'omu nsi ne batta abo bonna abeekobaana kabaka Amoni; abantu ab'omu nsi ne bafuula Yosiya mutabani we kabaka mu kifo kye.