2 Kings 21:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaddamu n'azimba ebifo ebigulumivu Kezekiya kitaawe bye yali asaanyizzaawo; yassaawo emyaliiro gya Baali, n'akola empagi ya Asera nga Akabu kabaka w'abantu ba Yisirayeli bwe yali akoze. Yavunnamira eggye lyonna ery'emmunyeenye z'eggulu, n'alisinza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yaddamu n’azimba ebifo ebigulumivu eby’okusamira, Keezeekiya kitaawe bye yali amenye: era yazimba n’ebyoto ebya Baali, n’asimba n’empagi kya Asera, nga Akabu kabaka wa Isirayiri bwe yakola, n’okusinza n’asinza eggye ery’omu ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yazikiriza; n'azimbira Baali ebyoto n'akola n'ekifaananyi kya Asera nga Akabu kabaka wa Isiraeri bwe yakola n'asinza era n'awereza ne emmunyeenye zonna ez'omu ggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga Manasse yazimba buggya ebifo ebigulumivu bye basinzizaamu, Heezeekiya kitaawe bye yali azikirizza. N'ateerawo Baali zaalutaari, n'akola ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera, nga Ahabu kabaka wa Yisirayeli bwe yakola. N'asinza byonna ebyakira ku ggulu, n'aba muweereza waabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'azimba nate ebifo ebigulumivu Keezeekiya kitaawe bye yazikiriza; n'asimbira Baali ebyoto n'akola Asera nga Akabu kabaka wa Isiraeri bwe yakola n'asinza eggye lyonna ery'omu ggulu n'aliweereza.