2 Kings 21:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yawonga mutabani we mu muliro; yakolanga eby'obulogo n'okusamira; yasamiranga n'okwebuuza ku mizimu. Yakola ekibi mu maaso g'Omukama n'amunyiiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’awaayo mutabani we okuba ekyokebwa, ng’akola eby’obufumu n’eby’obulogo, ate ng’alagulwa n’abaliko emizimu, n’abalogo. N’akola ebibi bingi mu maaso ga Mukama, era n’amusunguwaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayokya mutabani we mu muliro nga ssaddaaka, n'akola eby'obufumu n'aba n'eby'obulogo, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'ayokya mutabani we ng'ekiweebwayo ekyokebwa. Ne yeebuuzanga ku mmandwa ne ku basamize, n'akola eby'obulogo. N'akolagana n'abo abayita emizimu era n'abalogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayisa mu muliro mutabani we, n'akola eby'obufumu n'aba n'eby'obulogo, n'agendanga eri abo abaliko emizimu n'abalogo: n'akola obubi bungi mu maaso ga Mukama okumusunguwaza.