2 Kings 21:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaddira ekifaananyi kya Asera kye yali akoze n'akissa mu Kiggwa, Omukama kye yayogerako ng'agamba Dawudi ne Solomoni mutabani we nti: “Mu Kiggwa muno ne mu Yeruzaalemu, ekibuga kye nalonda mu bika byonna ebya Yisirayeli, mwe ndissa erinnya lyange emirembe gyonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yaddira ekifaananyi ekyole ekya Asera n’akiteeka mu yeekaalu, Mukama gye yali ayogeddeko ng’agamba Dawudi ne mutabani we Sulemaani nti, “Mu Yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi, bye nneeroboza mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga erinnya lyange emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ekifaananyi kya Asera n'akiteeka mu nnyumba ya Mukama; Mukama gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri mwe nditeeka erinnya lyange emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekifaananyi kya lubaale omukazi Asera kye yakola, n'akiteeka mu Ssinzizo, Essinzizo Mukama lye yagamba Dawudi ne Solomooni mutabani we nti: “Mu Ssinzizo lino ne mu Yerusaalemu, ekibuga kye nneeroboza mu bibuga by'Ebika byonna ebya Yisirayeli, mwe baba bansinzizanga ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asimba ekifaananyi ekyole ekya Asera kye yakola mu nnyumba Mukama gye yagambako Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti Mu nnyumba eno ne mu Yerusaalemi kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri mwe nditeeka erinnya lyange emirembe gyonna: