2 Kings 21:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era siriganya kigere kya Yisirayeli kuddamu kuwaba n'ava mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, singa balikwata byonna bye nabalagira, ne batuusa etteeka lyonna omuweereza wange Musa lye yabalagira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Siriddayo nate kujja bigere eby’Abayisirayiri mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe baneekuumanga okukola bye nabalagira byonna wamu n’amateeka omuddu wange Musa ge yabawa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri bwe baneekuumanga okukola nga byonna bye mbalagidde, era nga amateeka gonna bwe gali omuddu wange Musa geyabalagira; siribaggya nate mu nsi gye nnawa bajjajjaabwe okugituulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era siriddamu kuggya Bayisirayeli mu nsi gye nawa bajjajjaabwe, bwe banassangayo omwoyo okukola byonna bye mbalagidde, n'okukuuma amateeka gonna n'ebiragiro n'obulombolombo bye nabawa nga mbiyisa mu Musa omuweereza wange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so siriwabya nate bigere bya Isiraeri okuva mu nsi gye nnawa bajjajjammwe; kyokka bwe baneekuumanga okukola nga byonna bwe biri bye mbalagidde era ng'amateeka gonna bwe gali omuddu wange Musa ge yabalagira.