2 Kings 21:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo tebaawulira; Manasse yabawubisa ne bayonoona n'okusinga amawanga Omukama ge yazikiriza mu maaso g'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abantu tebaawuliriza, era Manase n’abasendasenda okukola ebibi okusinga n’ebyo amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri bye gaakola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne batawulira: Manase n'abasendasenda okukola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yazikiriza mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Manasse n'awabya ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yerusaalemu, ne bakola ebibi okusinga n'ab'amawanga Mukama ge yazikiriza ng'Abayisirayeli banaatera okutuuka mu nsi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ne batawulira: Manase n'abasendasenda okukola ebibi okusinga amawanga bwe gaakolanga Mukama ge yazikiriza mu maaso g'abaana ba Isiraeri.