2 Kings 22:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yosiya yafuuka kabaka nga wa myaka munaana; mu Yeruzaalemu yafugiramu emyaka amakumi asatu mu gumu. Nnyina ye yali Yedida muwala wa Adaaya ow'e Bozukati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yosiya n’atandika okufuga nga wa myaka munaana, era n’afugira mu Yerusaalemi emyaka amakumi asatu mu gumu, ng’erinnya lya nnyina ye Yedida, muwala wa Adaya ow’e Bozukasi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yosiya yali awezzeza emyaka munaana bwe yatandika okufuga; n'afugira emyaka asatu mu gumu (31) mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye nga ye Yedida muwala wa Adaya ow'e Bozukasi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosiya yali wa myaka munaana we yafuukira kabaka wa Buyudaaya, n'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemu. Nnyina erinnya lye yali Yedida, muwala wa Adaya ow'e Bozukati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yosiya yali yaakamaze emyaka munaana bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Yedida muwala wa Adaya ow'e Bozukasi.