2 Kings 22:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Safani omuwandiisi n'ategeeza kabaka nti: “Kilukiya kabona yampadde ekitabo.” Safani n'akisoma mu maaso ga kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona, ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Safani omuwandiisi n'agamba kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'akisomera mu maaso ga kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Saafani omuwandiisi n'agamba kabaka nti: “Hilukiya kabona ampadde ekitabo.” N'akisomeramu kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Safani omuwandiisi n'agamba kabaka nti Kirukiya kabona ampadde ekitabo. Safani n'akisoma mu maaso ga kabaka.