2 Kings 22:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mugende mwebuuze ku Mukama ku lwange, ku lw'abantu ne ku Yuda yenna ku bigambo by'ekitabo ekyo ekyazuuliddwa, kubanga obusungu bw'Omukama bungi obutwesereddeko, kubanga bajjajjaffe tebaawulira bigambo bya kitabo kino, tebaakola nga byonna bwe byatuwandiikirwamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mugende mumbuulize eri Mukama, nze, n’abantu bange ne Yuda yonna ku bigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino ekizuuliddwa. Obusungu bwa Mukama bungi nnyo gye tuli olwa bajjajjaffe obutawuliriza bigambo eby’omu kitabo kino, era tebaakola ng’ebyawandiikibwa bino bwe bitugamba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abantu bonna ab'omu Yuda, ebifa ku bigambo eby'omu kitabo kino ekizuuliddwa. Mukama atusunguwalidde nnyo, kubanga bajjajjaffe tebaagondera bigambo biri mu kitabo kino, byonna ebyatuwandiikirwa tubikole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mugende mubuuze Mukama ku lwange ne ku lw'abantu bonna ab'omu Buyudaaya, ebifa ku bigambo eby'omu kitabo kino ekizuuliddwa. Mukama atusunguwalidde nnyo, kubanga bajjajjaffe tebaagondera bigambo biri mu kitabo kino, byonna ebyatuwandiikirwa tubikole.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugende mumbuulirize Mukama nze n'abantu ne Yuda yenna eby'ebigambo eby'ekitabo kino ekizuuliddwa: kubanga obusungu bwa Mukama obubuubuuse eri ffe bungi kubanga bajjajjaffe tebaawulira bigambo bya kitabo kino okukola nga byonna bwe biri ebyatuwandiikirwa.