2 Kings 22:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kilukiya kabona, Akikamu, Akubori, Safani ne Asaaya ne bagenda ewa Kuluda omulanzi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tikuva mutabani wa Karukasi, eyali akuuma ebyambalo. Yali asula mu Yeruzaalemu mu Gombolola ey'Okubiri. Ne bamwanjulira ensonga zaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kirukiya kabona, ne Akikamu, ne Akubooli, ne Safani, ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukyala muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kalukasi omuwanika w’ebyambalo, okumwebuuzaako. Yabeeranga mu kitundu ekyokubiri mu Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kirukiya kabona ne Akikamu ne Akubooli ne Safani ne Asaya ne bagenda eri Kuluda, nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tikuva muzzukulu wa Kirukasi. Omukazi oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olwokubiri; ne bateesa naye ku nsonga eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hilukiya kabona ne Ahikaamu ne Akuboori ne Saafani ne Asaya ne bagenda eri Huluda omulanzi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tikuva, era muzzukulu wa Harukasi, omukuumi w'etterekero ly'ebyambalo. Omukazi oyo yabeeranga mu kitundu ekipya ekya Yerusaalemu. Ne boogera naye ku nsonga eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kirukiya kabona ne Akikamu ne Akuboli ne Safani ne Asaya ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi muka Sallumu mutabani wa Tikuva mutabani wa Kalukasi omuwanika w'ebyambalo; (oyo yabeeranga mu Yerusaalemi ku luuyi olw'okubiri;) ne bateesa naye.