2 Kings 22:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abaddamu nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Mugambe omusajja abasindise gye ndi nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mumugambe omusajja obatumye gye ndi nti
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Mukama, Katonda wa Yisirayeli, agamba nti: ‘Omuntu abatumye gye ndi mumugambe nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Mumugambe omusajja abatumye gye ndi nti