2 Kings 22:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama kino ky'agamba: “Ŋŋenda kuzikiriza ekifo kino na bonna abakirimu ng'ebigambo byonna eby'ekitabo kabaka wa Yuda by'asomyeko bwe bigamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
‘Mutegeeze oyo abatumye nti ŋŋenda kuleeta ku kifo kino n’abantu bano akabi, ng’ebyawandiikibwa mu kitabo bwe bigamba, kabaka wa Yuda by’asomye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ng'ebigambo byonna eby'ekitabo kabaka wa Yuda ky'asomye bwe biri:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: Akabi konna akoogerwako mu kitabo kino kabaka wa Buyudaaya ky'asomye, nja kukatuusa ku kifo kino, ne ku bakibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, ebigambo byonna eby'ekitabo kabaka wa Yuda ky'asomye: