2 Kings 22:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga nze banvaako ne banyookeza balubaale obubaani, ne bannyiiza n'ebifaananyi byabwe byonna ebya balubaale emikono gyabwe bye gyakola; obusungu bwange bujja kweserera ku kifo kino era tewaliba abuzikiriza.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okunvaako n’olw’okwotereza obubaane eri bakatonda, nga baleetera obusungu bwange okubuubuuka olwa bakatonda be bakoze, ndibaleetako obusungu bwange era tewaliba n’omu alibukkakkanya.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga abantu bange banvuddeko ne bookera obubaane eri bakatonda abalala bansunguwaze n'omulimu gwonna ogw'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuliva bubuubuuka ku kifo kino so tebulizikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga bwe banvuddeko, ne bootereza balubaale obubaane, ne bansunguwaza n'ebyo byonna bye bakoze, obusungu bwange kyebuliva bukoleera ku kifo kino, era tebulizikira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga banvuddeko ne bookera obubaane eri bakatonda abalala bansunguwaze n'omulimu gwonna ogw'engalo zaabwe; obusungu bwange kyebuliva bubuubuuka ku kifo kino so tebulizikira.