2 Kings 22:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Kubanga omutima gwo gutengedde ne weetoowaliza Omukama ng'owulidde bye nayogeredde ekifo kino n'abakisulamu, nti bajja kufuuka matongo era ekikolimo, n'oyuza ebyambalo byo n'okaaba mu maaso gange, nange nkuwulidde,” ’ Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga obadde mumenyefu mu mutima ne weetoowaza mu maaso ga Mukama bwe wawulidde ebigambo ebyo bye nayogedde ku kifo kino ne ku bantu bano, nti baakuzikirira era baggweewo, ate n’oyuza n’ebyambalo byo nga wennyamidde mu maaso gange, mpulidde okukaaba kwo, bw’ayogera Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nnagonza omutima gwo ne weetoowaliza mu maaso ga Mukama bw'owulidde bye nnayogera ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nga kirifuuka matongo n'ekikolimo, n'oyuza ebyambalo byo n'okaaba amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, ne nkusaasira, bw'ayogera Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omutima gwo nga bwe gubadde omugonvu, ne weetoowaza mu maaso gange, n'oyuza ebyambalo byo olw'okunakuwala, era n'okaaba amaziga bw'owulidde ebigambo bye nayogera ku kifo kino ne ku abo abalikibeeramu, nga balizikirira ne bajulirwa mu kukolima, kale nkuwulidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaliza mu maaso ga Mukama bw'owulidde bye nnayogera ku kifo kino ne ku abo abakibeeramu, nga balifuuka amatongo n'ekikolimo, n'oyuza ebyambalo byo n'okaaba amaziga mu maaso gange; nange nkuwulidde, bw'ayogera Mukama.