2 Kings 22:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yakola ekituufu mu maaso g'Omukama, n'atambulira mu makubo gonna aga Dawudi jjajjaawe; teyawunjukako kudda ku ddyo oba ku kkono.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, ng’atambulira mu ngeri za jjajjaawe Dawudi, awatali kutaaganaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambulira mu kkubo lyonna erya Dawudi jjajjaawe n'atakyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yosiya n'akolanga ebyo Mukama by'asiima n'aba n'empisa ng'eza Dawudi jjajjaawe, n'atakyukakyuka kudda eno n'eri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi n'atambulira mu kkubo lyonna erya Dawudi jjajjaawe n'atakyamira ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono.