2 Kings 22:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Kale nzija kukugatta ku bajjajjaabo, oliziikibwa mu ddembe, amaaso go tegaliraba kabenje ke nnaaleetera kifo kino.’ ” Ne bazzaayo ewa kabaka kye yali agambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyendiva nkutwala eri bajjajjaabo, n’oziikibwa mu mirembe, era amaaso go tegaliraba kabi kendireeta ku kifo kino.’ ” Awo ne bazaayo obubaka obwo eri kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange kyendiva nkukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n'ozikiibwa mirembe mu ntaana yo, naawe toliraba bubi bwonna bwe ndireeta mu kifo kino. Ne baddiza kabaka ebigambo ebyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndikutwala eri bajjajjaabo n'oziikibwa mirembe, era toliraba ku kabi ke ndituusa ku kifo kino.’ ” Ne baddayo, ne babuulira kabaka ebigambo ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, kyendiva nkukuŋŋaanya eri bajjajjaabo n'okuŋŋaanyizibwa mu ntaana yo mirembe, so n'amaaso go tegaliraba bubi bwonna bwe ndireeta ku kifo kino. Ne baddiza kabaka ebigambo.