2 Kings 22:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obwakabaka bwe, Kabaka Yosiya yatuma Safani omuwandiisi mutabani wa Azaliya, mutabani wa Mesullamu, ku Kiggwa ky'Omukama, n'amugamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka n’atuma omuwandiisi Safani mutabani wa Azaliya ate muzzukulu wa Mesullamu okulaga mu yeekaalu ya Mukama. N’amugamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana (18) ogw'obufuzi bwa kabaka Yosiya, kabaka n'atuma Safani omuwandiisi mutabani wa Azaliya, muzzukulu wa Mesullamu eri ennyumba ya Mukama ng'agamba nti
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'obufuzi bwa Yosiya, kabaka oyo Yosiya n'atuma omuwandiisi we Saafani, mutabani wa Azaliya era muzzukulu wa Mesullamu, agende mu Ssinzizo, ng'amulagidde nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa kabaka Yosiya kabaka n'atuma Safani mutabani wa Azaliya mutabani wa Mesullamu omuwandiisi eri ennyumba ya Mukama ng'ayogera nti