2 Kings 22:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Genda ewa Kilukiya kabona omukulu omugambe asaanuuse ffeeza eyaleetebwa mu Kiggwa ky'Omukama, abakuumi b'oku mulyango gwe basolooza ku bantu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yambuka eri Kirukiya kabona Asinga obukulu, akutegeeze omuwendo gw’ensimbi ezireeteddwa mu yeekaalu ya Mukama abaggazi ze basoloozezza ku bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Genda eri Kirukiya kabona asinga obukulu, omugambe abale effeeza ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, abaggazi ze baakasolooza ku bantu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Genda eri Ssaabakabona Hilukiya, omugambe abale ensimbi ezireeteddwa mu Ssinzizo, abagguzi ze baakasolooza ku bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwambuke eri Kirukiya kabona asinga obukulu, abale effeeza ezireetebwa mu nnyumba ya Mukama, abaggazi ze baakasolooza ku bantu: