2 Kings 22:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
akwasibwe baffundi b'omulimu abaali bakola mu Kiggwa ky'Omukama, bo basasule abo abaddaabiriza ennyaafa ku Kiggwa:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensimbi ezo zikwasibwe abasajja abaalondebwa okulabirira omulimu ogwa yeekaalu basasule abakozi abaddaabiriza yeekaalu ya Mukama,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
baziwe abakozi abaddabiriza ennyumba ya Mukama;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baziwe abasajja abalabirira omulimu gw'okuddaabiriza Essinzizo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
baziweeyo mu mukono gw'abakozi b'emirimu abalabirira ennyumba ya Mukama: baziwe abakozi b'emirimu abali mu nnyumba ya Mukama okuddaabiriza ebituli by'ennyumba;