2 Kings 22:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kilukiya kabona omukulu n'agamba Safani omuwandiisi nti: “Nzudde Ekitabo ky'Etteeka mu Kiggwa ky'Omukama.” Kilukiya ekitabo n'akiwa Safani, n'akisoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n’ategeeza Safani omuwandiisi nti, “Ekitabo eky’Amateeka nkizudde we kibadde mu yeekaalu.” N’akiwa Safani n’akisoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n'agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Awo Kirukiya n'awa Safani ekitabo n'akisoma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hilukiya Ssaabakabona n'agamba Saafani omuwandiisi nti: “Nzudde Ekitabo ky'Amateeka mu Ssinzizo.” Awo n'akiwa Saafani n'akisoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Kirukiya kabona asinga obukulu n’agamba Safani omuwandiisi nti Nzudde ekitabo eky'amateeka mu nnyumba ya Mukama. Awo Kirukiya n'awa Safani ekitabo n'akisoma.