2 Kings 22:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Safani omuwandiisi n'agenda ewa kabaka n'amutegeeza nti: “Abaweereza bo basaanuusizza ffeeza eyazuulibwa mu Kiggwa ne bamukwasa abakozi bannampala b'omulimu mu Kiggwa ky'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Safani omuwandiisi n’addayo eri kabaka n’amugamba nti, “Abakungu bawaddeyo ensimbi ezibadde mu yeekaalu ya Mukama era bazikwasizza abakozi n’abalabirizi ab’omulimu okuzikozesa n’okulabirira enkozesa yaazo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Safani omuwandiisi n'ajja eri kabaka n'addiza kabaka ebigambo n'ayogera nti Abaddu bo baggyeemu effeeza ezirabise mu nnyumba, ne baziwa abakozi b'emirimu abaddabiriza ennyumba ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Saafani omuwandiisi n'addayo eri kabaka, n'amutegeeza nti: “Abaweereza bo baggyeeyo ensimbi zonna ezisangiddwa mu Ssinzizo ne bazikwasa abasajja abakola omulimu ogw'okuddaabiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Safani omuwandiisi n'ajja eri kabaka n'addiza kabaka ebigambo n'ayogera nti Abaddu bo baggyeemu effeeza ezirabise mu nnyumba, ne baziwa mu mukono gw'abakozi b'emirimu abalabirira ennyumba ya Mukama.